Joshua 13:15-21

Ensi ya Lewubeeni

15Musa yagabira ekika ky’abaana ba Lewubeeni ng’enju zaabwe bwe zaali:
16 aEnsalo yaabwe ng’eva ku Aloweri, ekiri ku mabbali g’ekiwonvu eky’Alunoni, n’ekibuga ekiri wakati mu kiwonvu, n’olusenyi lwonna oluliraanye Medeba, 17 bne Kesuboni, n’ebibuga byakyo byonna ebiri mu lusenyi, ne Diboni ne Bamosi Baali, ne Besubaalumyoni; 18 cne Yakazi, ne Kedemosi, ne Mefaasi; 19 dne Kiriyasayimu, ne Sibuma, ne Zeresusakali ku lusozi olw’Ekiwonvu, 20 ene Besupyoli ne Pisuga awayambukirwa ku lusozi, ne Besu Yesimosi, 21 fn’ebibuga byonna eby’omu lusenyi, n’obwakabaka bwonna obwa Sikoni kabaka w’Abamoli, eyafugira mu Kesuboni, Musa gwe yawangula awamu n’abaami abaali bafuga ab’e Midiyaani, eri ne Lekemu, ne Zuuli, ne Kuli ne Leba, n’abalangira ba Sikoni abaabeeranga mu nsi.
Copyright information for LugEEEE